Ekinnya Kya Kabuyonjo Kisse Omuntu e kamira-Luweero ~ LUWEERO ONLINE RADIO

Ekinnya Kya Kabuyonjo Kisse Omuntu e kamira-Luweero




 

Entiisa ebuutikkidde abatuuze ku kyalo Katagwe-Bukiibi mu Town Council ye Kamira  mu district ye Luweero , bwebasanze mutuuze munnaabwe nga afiiridde mukinnya Kya kabuyonjo .

Omugenzi atageerekeseko erya Namatovu , nga atemera mujobukulu 47 .yasangiddwa nga mufu ... Okusinziira  ku bba wo mugenzi ategerekese nga Bukyang'nya Mike  annyonyodde .Luweero-online-radio bwegwadde  " Akawungeezi ko ku Sunday  , mukyala wange yandeka ewaka kusaawa nga 6:30pm nagenda mu Town okugula ekugula ebikozesebwa ewaka , Nakanda kumulinda nga takomawo .bwebwakedde jjo my Monday .n'embuzaaza kubantu gyennandimusuubidde wabula nga buli omu ang'amba tannamulabako .kyokka nnazzeemu okufuna mawulire nti Omuntu wange yagudde mukinnya ...."Bukyang'nya bwatyo bwalombojja ebyabaddewo.

Kigambibwa nti Omugenzi olwamaze okugula ebintu kudduuka erya Mukyala Maria , nayagala agendeko ewa mukwano gwe amanyiddwa nga Nnalubowa  nga tannaddayo ewuwe, era nga ebintu byeyaguze wamu ne tewali maanyi gakifuba yabirese kudduuka anti weyagalidde agenda wabadde kinnya- nampindi .wabula yay yabadde asaaliikiriza emabega  w'enju ya Maria .eyo gy'eyagweeridde mukinnya kyakabuyonjo nafiiramu nga tannatuuka wa Nalubowa . Ekinnya kya Ttooyi eno kitegeerekese nga mwami Kabengwa Benon ye yakisimisa emyaka esatu emabega nga kiweza 50fts era nga kibadde numeral dad omuddo ekyaviiriddeko omugenzi obutategeera not mukinnya waliwo ekinnya. Ate nga mbadde ssi kibikkeko  yadde olubaawo  .Kabengwa bwategedde nti ekinnya kye kisse Omuntu ne yeyokya ensiko .

Sentebe w'ekyalo Kino katumba ponsian avumiridde abatuuze blackjack abamala galeke ebinnya byebasimye nga   tebabibisseeko .

Bbo abamu kubatuuze avumiridde police ye kamira obutatuukira mubudde ."Omuntu gwetwazudde ku ssaawa 8pm ez'ekiro police mediums kati ku ssaawa mwenda emisana kiswaza police  obutatuukiriza buvunaanyibwa bwayo netutuuka okuggyo omulambo nga tebaliiwo    " .   Ezozezimu kundowooza z'abatuuze.





                                   

        

No comments:

Post a Comment