Abakkiriza beeyiye mubungi ku lutikko e Lubaga okukuza olunaku lw'amazaalibwa ga Yesu Kristu. Era ekitambiro Kya Mmisa kikulembeddwa .Ssaabasumba we ssaza lye Kampala His Grace Paul Ssemwogerere .ono asabye abakritu okubeera ne ssuubi. Saako nokuyamba abalala
Kulwa Government ye Mengo. Katikkiro Charles Peter mayiga alambuludde emiramwa 12 egiri mububaka bwa Ssaabasajja obwa Christmas. ;Obutaggwamu ssuubi, Obuvumu, Okulengerera ewala, Obutava kumulamwa, Okunyweza ennono zaffe, Okulwanagana mu parliament,Okwewala obusosoze,Okulonda abantu abategeera ensonga z'abuganda, okulima emmwanyi,Okulwanyisa obwavu, .Okwewala ebintu ebikyamu.
Mayiga amalirizza akubiriza abantu okubeera obumu.
Dr Jc Muyingo .kulwa Government ya Uganda asinzidde mu Mmisa eno nakubiriza abantu okukozesa social media okubintu ebibakulaakulanya mukifo kyokuvumirako abantu.
Muyingo era asabye abazadde okukuuma wamu n'okulabirira abaana baabwe.
Ye president wa NUp kyagulanyi Sentamu Robert asinzidde wano nabakkiriza abazadde okusomesa abaana emiramwa wamu namakulu ga Ssekukkulu
Missa eno yetabiddwako. Abakukunavu bangi omuli minister omubeezi owa kampala.Hon kyofattogabye ,mayor we Makindye Ali mulyannyama nabalala.

No comments:
Post a Comment