Nga Uganda yetegekera okulonda omwaka ogujja , Ssaabasumba w'eSsaza ery'e Kampala His Grace Paul Ssemwogerere avuddeyo navumirira ebikolwa ebyekko ebitandise okweyoreka nga asinziira kubyabadde e kawempe, abakuuma ddembe bwebakakkanye kubamu abavuganya nebabatusaako obulabe nga wano webakubidde ne munnamawulire wa Top tv .Ssaabasumba abuuza nti lwaki akakululu akalimu okuyiwa omusaayi kategekebwa. Ono agamba nti kwekiba nti keekalulu ketugendamu ebyokukategeka babiveeko.
Ssaabasumba awunzise akubiriza abavubuka okwekolera ,nti bave mukutunuulira ebintu byabakitaabwe .
Kulw'Obwakabaka bwa Buganda ,Kangawo Ronald Mulondo asinzidde wano nakubiriza abantu ba beene okulima emmwanyi. Wamu nokwenyigira munteekateeka y'okulwanyisa akawuka ka ssiriimu nga bayita mukwetaba mumisinde gya kabaka birthday run eginaaberawo nga 6th omwezi guno.
Dr .Jc Muyingo kulwa gavumenti asabye abantu okusimba emiti kiyambeko okuzzaawo obutonde bwensi..
Mungeri yeemu Muyingo ajjukizza abavubuka okwetaba mubyobufuzi ..
Omukolo guno gwetabiddwako bannabyabufuzi abanjawulo.
Essaza lye kasana-luweero liwezzezza emyaka 28 nga lifuuliddwa essaza nga lyakutulwa kulye Kampala. Nga lirina parishes 21 .wamu ne deanary 4
No comments:
Post a Comment