Domestic Violence ~ LUWEERO ONLINE RADIO

Domestic Violence


 Omusajja nga atemera mu gy'obukulu 40 nga ye Natukunda Isaac , y'addukidde mu office y'avanaanyizibwa ku nsonga z'amaka n'abaana mu district ye Mukono nga Ali n'abaana be 7 . Entabwe eva ku mukyala we okunoba namusuulira abaana nga entabwe eva ku muggyawe okuleeta omwana omulala mu Maka gano .

Natukunda, Ono mutuuze kukyalo Ngundu , mu Mukono central Division , gwetusanze asobeddwa . Natukunda agamba nti omulimu gwokuvuga boda boda gweyali akola ,yaguzaako dda oluvannyuma lwokufuna akabenje , ate Nga kati tasobola kuddamu kukola kubanga talina muntu gwakekera baana ...

Abaana bano basabye maama waabwe akomewo kubanga embeera ebayinze ,

Ye avuunanyizibwa ku nsonga zabaana e Mukono Dorah Najjuma asabye abakyala obugenda mubalembeze babatabaganye singa babeera bafunye obutakkaanya mu Maka gaabwe.


No comments:

Post a Comment