Omulabirizi Akubye Aba Boda Boda Akaama ~ LUWEERO ONLINE RADIO

Omulabirizi Akubye Aba Boda Boda Akaama




Munsisinkano n'abavuzi ba Boda Boda e Ndejje ,Omulabirizi we Luweero Bp . Wilson Kisekka  asiimye abavuzi ba Boda Boda ,olw'okwagala ennyo katonda wamu n'okubeera  abakozi kyekinaabayamba okwejja mubwavu .

Omulabirizi era abasabye okwongera okuyonja amulimu gwabwe nga beewala emize omuli obubbi, ettamiiro,obwenzi wamu n'obuyaaye "mukyawe nnyo wankoowa ebitali bya bwa Katonda "    

Bbo aba Boda mu Ndejje Town Council  ssekinnoomu  basiimye nnyo omukulu okubasuulira omwoyo nabalambulako ."Tulina essanyu olwa Bishop waffe okujja natulambulako ,netunyumya kubikusomooza"

Omulabirizi bwavudde muba Boda agenze ku ssomero lya Ndejje Vocations secondary school, gyasinzidde nakubiriza abayizi okubeera abawulize eri abazadde wamu n'abasomesa       .      

Bano bategeezezza omusumba nti baagala nnyo okubeera ku Church buli Sunday naye emirimu gyibakwata .       

Bukyanga omulabirizi alondebwa agenze akyaliranga ebitundu ebyenjawulo mubulabirizi bwe Luweero .


         

No comments:

Post a Comment