Okutumbula Eby'obuwangwa ne nnono. ~ LUWEERO ONLINE RADIO

Okutumbula Eby'obuwangwa ne nnono.


 Akulira ekitongole ky'obulambuzi ne nnono  ku ssaza lye  kyaggwe .Eric Ssekabembe akubiriza   abayizi okukuuma eby'obuwangwa ne nnono  wamu n'okusimba emiti  omuli omwanyi, emituba wamu n'emiyembe  .Ssekabembe bino abitegeezezza abayizi abali mukibiina Kya  Nkoba'zambogo wamu nabo abasoma olulimi    oluganda ku ssentendekero we kyambogo bwebabadde bamukyaliddeko .Bwatyo nabakubiriza  okukwenyigira mubyobufuzi.

Ate ye akwasaganya  mirimu ku Ssaza Steven Tomusange  ye nnyamidde  olw'empisa ezinabuuse bwatyo nasaba abavubuka okutwala eby'obuwangwa nga ekikulu.

Ye Ssentebe w'ekibiina Kya Nkoba'zambogo Andrew Mawangala assinzidde munsisinkano eno navimirira ennyamba yabaana abawala wamu   nnennyimba ez'obuseegu ezitiridde .bwatyo nasaba abavubuka okwetannira ebikolwa eby'obuwangwa ne nono ..



No comments:

Post a Comment