Oluvannyuma lwa government okuvaayo kwereeta enkola empya enagobererwa amasomero ga government aga secondary ne primary, nga munkola eno abazadde bagenda kutandika okusasula ebisale bye ssomero nga bayita mukitongole kya government ekiwooza omusolo ki URA
Abamu kubakulu ba Masomero mu district ye Mukono bavuddeyo nebalaga obutali bumativu nenkola eno government gy'ereeta nti era kiviireko nabazadde abamu okukyusa abaana baabwe.
Suzan Wamala sserunkuuma , ono ye nankulu we kibiina etaba abakulu bamasomero mu municipality ye Mukono era nga ye HM wa Mukono Boarding p/s agamba nti enkola eno egenda kusuula omutindo gwamasomero gano kuba Government sente zebaweereza tezibamala kuddukanya masomero. "Waliwo ebintu byetukola kussomero nga tetumaze kulinda sente za government so government tugisaba eddemu etunule munkola gyeyagala okuleeta,"
No comments:
Post a Comment