Banna-mawulire abagasakira mu kibuga Mukono bazeemu okuloza nabukambwe bwa Speaker wa Division ye Ggoma mu municipality ye Mukono. Tony Bwanika (NUP) .
Speaker ono asoose kubagoba mu lutuula lwa council nga babayambe nti tewali yabayise .wabula webagaanye nabawendulira abasirikale olwo nebabafulumya mu lutuula lwa council nga tebulinnya.
Speaker Tonny Bwanika Banna-mawulire abalanze kufumya mawulire wiiki ewedde nga bakkansala becwa-cwana era nabayiwa n'olutuula oluvannyuma lwa executive okwebulankanya kumirimu .
Olwaleero speaker asoose mugamba masimu g'abamawulire mbu baleme kukola kintu kyonna kyokka olumaze nazibaddiza bwatyo nabalagira bafulume nakakwakkulizo kobutafulumya ggulire lyonna . .
Amawulire agava munsonda ezesigika galaga nti speaker wamu n'olukiiko lwa executive nga lukulembeddwamu mayor , babadde baagala kuyisa budget ya 2025/26 nga beetereddemu sente empitirivu zebanaakozesa mukukuba campaign mu 2026 .kyokka nga bakkansala bangi tebazimanyiiko ...
Era speaker bwagobye bano natebenkera bulungi muntebe ye olwo kanso negenda mumaaso
Abamawulire bano kulikolera kumikutu Salt media, Luweero Online Radio, Radio simba , NBS fm , Mukono fm abalala. .
Abamu kuba kkansala wamu n'abamawulire bavumiridde ekikolwa speaker kyakoze .
No comments:
Post a Comment