Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 asiimye naawa obubaka bwa Eid-el Fitri eri abasiraamu .
Nnaamunswa ayozaayozezza abasiraamu okutuuka Ku lunaku lwa Eid. Bwatyo neyeebaza Allah abasobozessezza okumalako ekisiibo.
Ssaabalongo bwatyo nasaba Allah abawe empeera y'okusiiba ,amaanyi n'obusobozi okwongera okuweereza obuganda
Sserwatikka lw'attaka ,akubirizza abakkiriza okunywereza abaana mu ddiini n'okumanya obukulu obuli mukusiiba n'okwagalana
Ssaabataka ategeezezza nti ebikolwa ebyobukambye ,ettima,okwagala okweyagaliza wadde akafa nsonyi nempalana bizzeemu olwabantu obutaba na ddiini. Bwatyo nakubiriza abantu obutasirikira bikolwa bino wamu n'obusosoze obuli mukugaba emirimu gya government
Maaso mooji awabudde nti emirimu gisaana giweebwe abantu abalina ebisaanyizo ate nga temuli kyekubiira.
Nnaantawerwa okubirizza abantu okwewonga eri kayonda aziyize obutabanguko obujjira mubiseera eby'okulonda.
Ssekessa asabye abantu be okulonda abakulembeze abalimu ensa ,abaagala obwakabaka n'ensi yaabwe.
"Tuluubirire okulonda okulimu amazima n'obwenkanya."-kabaka
No comments:
Post a Comment