Ssabbiiti ewedde government yalaalika parliament nga bwegenda okuleeta ennongoosereza mu tteeka erifuga amagye ga UPDF ,nga muno government eyagala okuzzaawo Court y'Amagye eddemu okuvunaana abantu ba bulijjo .
Lord Mayor Erias Lukwago agamba nti byonna government wamu n'ababaka ba parliament byebaagala okukola , supreme court yabisazaamu, era nti ababaka bandibadde tebakemebwe ssitaani kuzzaawo court eno emenya amateeka nga court ensukkulumu bweyasalawo .
"Chief Justice yabawabula bulungi yabagamba nti baddembe okuzzaawo Court martial nga disciplinery committee eya UPDF ,so Si nga court ewozesa abantu ba bulijjo ,ekirala kyebayinza okukola kwekugikola nga division ya high court ." Lukwago bwatyo bwategeezezza .
Lukwago era alabudde ku nsimbi obukadde 100M ezaweereddwa ababaka nti bano bwebaba baziridde balina okwegendereza kubanga zandibalakira ." Kumulundi guno muwe banna-uganda essuubi nti parliament esobola kituufu nga tetambulidde ku ntoli za mwami Museveni "
Mungeri yeemu sentebe wa kabondo ka babaka ba NRM abava mu Buganda .Hon Robert Migadde Ndugwa agamba nti bingi byebaasalawo nga bali mukabondo kaabwe ebikwata kutteeka lino era nti singa bigobererwa ebizibu banna-uganda bwebalina ku court y'Amagye bonabeera bugonjoddwa .
No comments:
Post a Comment