Yino eddiini ya Bayudaaya nga bano olunaku lwabwe lutandika akawungeezi so ssi kussaawa mukaaga ez'omu ttumbi era bano ssabbiiti yaabwe ebaayo ku lwa mukaaga era kulunaku luno tebakkiriza kukola mulimu gwonna .
Bano tebatambulira ku calender yaffe .bano emyaka bagibala okuva kunsi lweyatondebwa era Kati bali mu mwezi ogusooka omwaka 5787 , era omwezi gaabwe gutandika nga omwezi gubonese .
Ediini eno ekitebe kyayo kiri Isirayiri era gye yatandikira .Bano bwebazaala abaana babakomola ba ba nnaku munaana , Ate bbo abakyala bwebava munsonga balina okumala ekumala ennaku 7 nga tebeegasse na musajja yenna .
Mu Uganda abantu bano basangibwa mu bitundu nga e Namutumba , kiryandongo , mu busoga wamu ne Bugwere nga ne mu Kampala mwebali abatono .Bano ekitebe kyabwe ekikulu kiri Mbale .
Eddiini eno emaze emyaka 100 era tebalya nnyama gyebatasaze era bwe bwe baba bagula ennyama kiro emu ya 12,000shs .
Bano tubasan
No comments:
Post a Comment