Parliament Yegaanye Akasiimo k'obukadde 100 ~ LUWEERO ONLINE RADIO

Parliament Yegaanye Akasiimo k'obukadde 100


 

Omunyuka wa sipiika wa parliament Thomas Tayebwa ,asambazze ebiyiting'ana nti buli mubaka wa parliament yaweerwddwa ensumbi obukadde 100 mungeri etali nambulukufu nga ye agamba nti ebyo biboozi  bya kumwenge era nti ye tasobola kubiwa budde.

Tayebwa agaanye n'okuteesa ku nsonga eno agamba tasobola kukkiriza palamenti kutambulira ku biboozi bitalina mutwe  nti kubanga singa bibadde bituufu singa naye yafunye , naye tannazifuna .

Kino kiddiridde omubaka we Butambala , Muhammad Muwanga kivumbi ekuvaayo nasaba government etangaaze ku nsonga eno.

Okusinziira ku mawulire agafuluma galaga nti ababaka ba parliament baafu a obukadde 100 buli omu nga zino "mbu" baazibawadde nga Easter Bonanza okuva eri omukulu nga zakubasiima kuyisa tteeka ly'eMwanyi .wamu nukubagonza emitima bosobole okukkiriza ennongoosereza  mu tteeka lya UPDF act ,olwo abantu baabulijjo bakkirizibwe okuwozesebwa mu court ya Amagye.







No comments:

Post a Comment