Awanguddwa ku Bwa Ssentebe Afudde ~ LUWEERO ONLINE RADIO

Awanguddwa ku Bwa Ssentebe Afudde




Abatuuze ku kyalo kidula ekisangibwa mu muluka gwe kaabunyata mu Town council ye kamira mu District ye Luweero ,bali mukyobeero olwa mutuuze munnaabwe abadde yesimbyewo kubwa LC1 okukubwa puleesa nafa ,oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kalulu.Up

Ronald Ganaafa , omugenzi kati  abadde avuganya ne Mr. kirabira Long ( NRM) , Mu kalulu Kano.

Omu kubaana b'omugenzi atayagadde kwatuukiriza linnya  atutegeezezza  nti Taata we  abadde mugonvugonvu nga entabwe ebadde kubunkenke obubaddewo mukuwenja akalulu wakati we ne Kirabira , gwabadde abbinkana naye .era nti n'olunaku lwe ggulu  teyasobodde kugenda kulonda nga yasindiseeyo "Agent" we  ategerekeseeko erya Lawrence ,yaba amulinnyira mu musaayi .

Ganaafa y'abadde akyali waka nafuna akasimu okuva eri Kali-lugambo we ,eyamubuulidde nti akalulu baabadde bakamukubye era nga  yafunyeyo  obululu 84 bwokka ate nga ye munne Kirabira ,obululu abuyezesezza lweyo. Wano ppuleesa ,wezimukubidde era abaamubadde okumpi kwekumuyoola bamutwale mu ddwaliro anti baalugeradda nti n'aganaafa.... bagasalira essubi. 

wabula ekyennyamiza abaabadde batwala Ganaafa muddwaliro   bamuyisizza ku polling station awabadde okulonda nga emizira ne nduulu byefuze ekitundu. Kino kirowoozebwa nti  kino kye kyayongedde amaanyi ekirwadde ekyatutte Ganaafa. Era nga muddwaliro e Kasana gyebabadde bamutwala tatuuse.

Bino webiggidde nga munnaku bbiri emabega  ggulo. Muwala wa Ganaafa yali yakamala okwanjula  mwana munne mubazadde be mu Maka ga kitaawe kati Ganaafa kati omugenzi .

Mukulonda okuwedde Ganaafa yali yesimbawo kubwa Councilor akiikirire abantu be kaabunyata wabula abalonzi akalulu nebakamumma .okulonda kwobwa sssentebe wekwatuuse ye kwekwambala engatto , wabula yali tamanyi nti ekkubo lyakutte lyeligenda okumujja mubulamu bwensi Eno.

Councilor kakiikirira abantu be kamira kulukiiko lwa district ye luweero . Mr kasozi Robert asabye abantu okugendanga mu ddwaliro bakeberebwe endwadde okwewala embeera nga Eno.. era akibirizza abatuuze okuguma kubanga omukama yaawa ate era yajjawo..

Ekyalo kidula kyatemebwa ku kyalo Kudumali era nga kwemulundi ogusoose okufuna ssentebe

RIP . Ganaafa Ronald

Support us.

https://luweero-online-radio.blogspot.com

https://luweeroradio.online









No comments:

Post a Comment