Luweero
Akawuka akalya ebitooke ,katandise okweraliikiriza abamu ku balimi mu district ye luweero naddala mu magombolola nga kamira ne kikyusa .
Katongole Tadius nga ono mulimi wa matooke e kikyusa agamba nti ebitooke ebimu byengera endagala nga bikyali bito ate ebirala olumala ossaako nga byengera .akawuka kano kasaanikidde n'ebitooke bya kivuuvu, kayinja wamu ne birala .
"Tugezezzaako okuteeka evvu wamu n'omusulo kubitooke naye tukoose-koose muga lumonde ....! Bwentyo nsaba gavumenti eveeyo etuyambe .kubanga kati nabakola omulimu gw'okuyiisa waragi tebakyakola olw'Amabidde okubeera amatono ." Bwatyo Tadius bwagamba
Ate ye Omulimisa (agricultural officer) mu Town Council ye Kamira .omwami Kimeze Daniel , anennyezza abalimi abatayagala kwettanira misomo egyikwata kubyobulimi , ate bwebavaayo nga bakaaba.bwatyo nabasaba abalimi abalina ekizibu Kino okutegeezako abakulu abavunaanyibwa kubyobulimi okuviira ddala ku town council basobole okuyambibwa ..
No comments:
Post a Comment