Oluvannyuma lwa kakiiko ka Uganda Law Council akakulirwa omulamuzi Irene Malyagonja , okugaana okuwa munnamateeka w'e Kenya Martha Laura ebbaluwa ey'ekiseera emukkiriza okuwolereza Dr.kiiza Besigye ku misango govornment gye yamuggulako .
Martha Karua asazeewo asooke addeyo ewaabwe e kenya nga bwalowooza kyazzaako .
Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti bbo nga balooya ba Besigye basazeewo , Martha karua asooke addeyo e kenya akwatagane na kakiiko ka bannamateeka e kenya wamu naka East Africa. Olwo balyoke bakake government ya Uganda ekkirize karua awolereze Besigye.
Kyokka ko akakiiko ka Uganda Law Society bwekaabadde kagaana okuwa Martha karua ebbaluwa emukkiriza okuwoza emisanga
Kaagambye nti Karua talina kyamaanyi kyagenda luteetawo mukuwolereza Besigye wabula Martha karua nabaanukula ng'abagamba bamwesonyiwe kubanga tagenda kuwolereza bbo .
Mungeri yeemu akakiiko ka bannamateeka okuva e kenya .baavuddeyo tebategeeza nti singa government ya Uganda tekkiriza Martha karua kuwolereza mu Uganda. Nabo tebajja kukkiriza bannamateeka ba Uganda kuwoleza misango e kenya .
Gyebuvuddeko . Dr.Col kiiza Besigye yakwatibwa nga ali kenya era nakomezebwawo mu Uganda mungeri etagoberera mateeka nga avunaanibwa omusango gwokusangibwa ne mundu bwatyo naasimbibwa mu kkooti ya Maggye nga Besigye yalonda Martha Karua munnamateeka okuva e kenya akulemberemu banne bamuwolereze.

No comments:
Post a Comment