President we Kenya William Ruto , atabukidde abamuseekeeterera nga bamulangira okufuga banna kenya n'omukono ogwe kyuma .
Bwabadde ayogerako eri banna kenya kulunaka lwa independence ebeerayo buli 12th/December .
Ku mukolo gwameefuga Ruto kwategeerezza nti waliwo bannakigwanyizi abamulima empindi kumabega nga bagenda bakuma omuliro mubantu nga bwebasaasanya amawulire ag'obulimba olwekigendererwa ekyokumukyayisa abantu .bano abalabudde nti singa tabaakikomye bagenda kuwulira ekiva mu yeebiraka ! Ruto agamba nti afubye bbeeyi y'ebintu ekka kyokka neyewuunya abantu obutasiima nebasalawo okumwogerera ebikikinike .
Kyokka mumasaza agamu , abakungu Ruto baasindise basome obubaka bwe, abavubuka banalemesezza okubusoma nebavaawo nga batolotooma .
Bukyanga Ruto atuula ku ntebe y'obukulembeze e kenya , ebintu byatandika okukyuka era kiteeberezebwa nti Ruto enfuga ye yakisibira mu bbwa .era ne gyebuvuddeko yagoba omumyuka...
Ate nga waliwo n'abavubuka abamunywesa amazzi agokumukumu bwebeekalakaasa nga bawakanya ebintu ebitatambula bulungi.
No comments:
Post a Comment