Essaza ly'e kyaggwe litongozza emisinde ja mazaalibwa ga kabaka ejje myaka 70 egy'obuto era nga emisinde gino gitongozeddwa Ssekiboobo Vincent Matovu .ku kitebe ekikulu ekye ssaza e Mukono nekigendererwa ekyokulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga. Ssekiboobo akubirizza abantu okwekebeza akawuka kibayambe okutegeera webayimiridde .
Ono era akunze abantu ba beene okugula emijoozi Kya kabaka birthday run .
Wabula ye omubaka mu parliament akikiirira amasekkati ga lugazi municipality Stephen serubula akoowodde bannamakolero , abasomesa wamu nabavujjirizi be nsimbi abalala okuvaayo okwetaba mu nteekateeka zino ezokulwanyisa mukenenya .
Omulamwa gw'omulundi guno gugamba nti abasajja nabalenzi okutangira okukasaanya akawuka eri abakyala n'abaana abalala.
No comments:
Post a Comment